Lamentations 3

1 aNze muntu eyakangavvulwa
n’omuggo ogw’obusungu bwe.
2 bAngobye mu maaso ge n’antambuliza
mu kizikiza, awatali kitangaala;
3 cddala, omukono gwe gunnwanyisizza
emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.

4 dAkaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
era amenye n’amagumba gange.
5 eAntaayizza n’anzijuza
obulumi n’okubonaabona.
6 fAntadde mu kizikiza
ng’abafu abaafa edda.

7 gAnkomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
ansibye enjegere ezizitowa.
8 hNe bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
okusaba kwange akuggalira bweru.
9 iAnteeredde amayinja mu kkubo lyange
era akyamizza amakubo gange.

10Ng’eddubu bwe liteega,
n’empologoma bwe yeekweka
11 jyansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula
n’andeka awo nga sirina anyamba.
12 kYanaanuula omutego gwe,
n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.

13 lYafumita omutima gwange
n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
14 mNafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
15 nAnzijuzza ebikaawa
era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.

16 oAmpadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;
anninnyiridde mu nfuufu.
17Emmeeme yange terina mirembe,
n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
18 pEra njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”

19Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
n’obulumi n’obubalagaze.
20 qMbijjukira bulungi
era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21Ebyo byonna mbijjukira,
kyenvudde mbeera n’essuubi.

22 rOlw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 sBuli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 tNjogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”

25 u Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
eri oyo amunoonya.
26 vKirungi omuntu okulindirira
obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
mu buvubuka bwe.

28 wAtuulenga yekka mu kasirise
kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
29 xLeka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
30 yLeka aweeyo oluba lwe okukubibwa,
era amalibwe n’okuvumibwa.

31 zKubanga Mukama taligobera bantu bweru
ebbanga lyonna.
32 aaNewaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa
kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
33 abTagenderera kuleeta bulumi
newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.

34 Mukama akkiriziganya
n’okulinnyirira abasibe,
35n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe
mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
36 acoba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?

37 adAni ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
Mukama nga takiragidde?
38 aeMu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
39 afLwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?

40 agTwekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
tudde eri Mukama.
41 ahTuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
42 ai“Twayonoona ne tujeema,
tokyerabiranga era tonatusonyiwa.

43 aj“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
n’otutta awatali kutusaasira.
44 akWeebisseeko ekire,
waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
45 alOtufudde obusa n’ebisasiro
mu mawanga.

46 am“Abalabe baffe bonna batwogerako
ebigambo ebibi.
47 anTubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
48 aoAmaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
olw’okuzikirira kw’abantu bange.

49 apEra amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
awatali kusirika,
50 aqokutuusa Mukama lw’alisinzira
mu ggulu n’alaba.
51Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.

52 arAbalabe bange banjigganya olutata
ne baba ng’abayigga ennyonyi.
53 asBagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
ne bankasuukirira amayinja;
54 atamazzi gaabikka omutwe gwange,
ne ndowooza nti, nsanyeewo.

55 au“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 avwawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
eri okukaaba kwange.”
57 awBwe nakukoowoola wansemberera
n’oyogera nti, “Totya!”

58 axMukama watunula mu nsonga yange,
era n’onunula obulamu bwange.
59 ayAyi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
60 azWalaba bwe bampalana,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.

61Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
62 baobwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
bye bantesaako obudde okuziba.
63Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
bannyooma nga bwe bannyimbirira.

64 bbObasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,
olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
65 bcOsseeko ekibikka ku mitima gyabwe,
n’ekikolimo kyo kibabeereko.
66Obayigganye mu busungu bwo obazikirize
ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.
Copyright information for LugEEEE